Sheebah Karungi, Lydia Jazmine - Omuntu lyrics

[Sheebah Karungi, Lydia Jazmine - Omuntu lyrics]

Nzize kusomesa agawalaayi
Nsaba tega okutu yenze Queen Sheebah
Jazmine asomesa walaayi
Sayid soft
TNS

Ekitonde kye bayita omuntu
Omuntu
Ekisolo kye bayita omuntu
Omuntu
Omuntu ajja n’akulimba
Mbu aleese plan enakuzimba
Ebibyo n’obitunda
Naye ng’akubala bw’akutunda
Omuntu ky’ekimera
Ekitetaaga mirandira okumera
Omuntu wa mbeera
Kyemanyi buli muntu n’embeera ze
Aba n’obugambo obuwoomu (True)
Kabe mulokole oba musiraamu (True)
Tagendeka mwanadamu oyo
Emitima balina na gya Saddam

Katonda yatonda omuntu
Yatonda omuntu
Ddala yayiiya omuntu
Yayiiya omuntu
Katonda yatonda omuntu
Yatonda omuntu
Ddala yayiiya omuntu
Yayiiya omuntu

Nalabangako Jane
Mu mukwano ogw’akabi ne Ben
Ben yasuubiza Jane nti embaga elibeera ku mmeeri
Haa! mbu mu kwanjula
Abazadde alibatonera Benz
Jane yatabuka n’adduka ne ku bbaawe
N’anti atunulira Benz
Eeh! Benz teyagifuna
N’embaga Jane emmeeri teyagiraba
Lwakimanya nti Ben gwe yatomera
Talina na ssente obwavu bwe yatomera
Yaddayo ewaabwe gye yakulira
Alima lumonde ewaabwe gye yakulira
Eh oyo ye muntu
Mutaayi tozannyisa muntu

Akugamba first cut, is the deepest
Mbu yegwe eyasooka alisembayo
Kubanga you’re realest
Omuntu bw’akunyumya ne gye muva
Olowooza akulaga gye mulaga
Mu ntandikwa ayogera ne museka
Olowooza alikuwa n’obusika
Mu mikwano egyo mwe beekweka
Face ezo ezimwenya
Tolowooza nti abamwenya
Teri lunaku lw’alikusiima

Omuntu
Omuntu oyo

Interpretation for


Add Interpretation

A B C D E F G H I J K L M N O P Q R S T U V W X Y Z #
Interpret