Feffe Bussi - Emboozi y'e Gulu lyrics
[Feffe Bussi - Emboozi y'e Gulu lyrics]
Gulu
Gulu
Story y’e Gulu
Yes, ssi buli agenda e Gulu
Mbu aba agenze mu ggulu
Ne bw’aba alabye Mister Gulu
Ekyo kitwale nga kikulu
F.B.M
Feffe Bussi
Kabaka mu rap master nga Jet Li
Feffe Bussi wo muko wa Nubian Li
Bino mbyogera sitidde nga ndi free
Maama yankuza aŋŋamba bino eby’ensi temuli
Once upon a time twatandika association
Ba superstar twegasse ne determination
Tufunye meeting ne Operation Wealth Creation
Mbu baagala kyusa music industry y’eno nation
Twali tumanyi fenna tuli ku one mission, vision
Kumbe abalala balina ezaabwe intention!
Ggwe ayagala osolvinga Gulu equation
Naakatandika tega amatu you pay attention
Yes okugenda e Gulu bakuwa nsalessale
Security tight okutuuka ku Saleh Saleh
Abamu banonayo ssente babale
Eno verse one linda verse two nze nyonnyole
Luno lwe lugendo lwange (Gulu)
Kano ke kaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange (Gulu)
Luno lwe lugendo lwange (Gulu)
Kano ke kaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange (FBM)
Yo, lwali lwakutaano ku makya ssaawa bbiri
Tutudde mu nziga ne Pallaso babiri
Tunonye Weasel mpaka wa Chamili
Ne Bafana yeetegese asaze akaviiri
Kabakko ne Saha bo baaliwo awo ku bbali
Nga bwe tulindako n’abalala ba chali
Essimu yavuga okuva ewa Sylvia Awori (musimbudde?)
Kko ffe ka twesogge eggaali
Olugendo lwa Gulu lwali luwanvu
Kw’olwo Kabakko ye yajjira mu mpale mpanvu!
Abamu ekibatutte mbu kuwona bwavu
Abalala ebinyiiza mu industry biwanvu (ah)
Tuvuze akatemerero gatandise otubuguma
Tugudde mu kiddo batuyimirizza e Karuma
Masimu gakubye mbu waliwo bano abazze
Ba star order n’eva waggulu mbu bajje!
Awo tuyiseewo ppaka Gulu mu town
Tufunye we tupowa Hotel Acholi Inn
Tutumizza eby’okulya baleese chips
Tuyombye anti baluddewo oleeta drinks
Eno ba waitress bwe batusaba pics
Bwe beetala bwetutyo mpaka ku pillow mbissi!
Teweerabira ekyatututte yali meeting
Beerako third verse ya proceeding
Luno lwe lugendo lwange (Gulu)
Kano ke kaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange (Gulu)
Luno lwe lugendo lwange (Gulu)
Kano ke kaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange (wulira meeting gwe)
Yo, nali mmanyi abayimbi bazuukuka late
Olunaku lwa meeting abantu baakeera ku gate!
Okukkakkana, bakkirizzaako bamu babagaanye
Era abalala baalindira mu wooteeri bannaaye
Terwaalwa, meeting ng’etandika na bbidi
Amaaso gange ŋenda olaba ndaba Ragga Dee
Fiina Masannyalaze ali mabega wa Cindy
Big Eye ne King Michael simanyi ndaba bulungi
Ronald Mayinja naye yali yazze mu ssuuti
Nga yebisse yenna yenna alinga ali mu kabuuti!
Nafulumamu wabweru nze ne nsooka nseke
Nga ndaba twogera General ali ka sigala ke!
Tumugambye tumunnyonnyodde ensonga za copyright
Atugumizza mbu kye baliko kijja kuba alright
Laba bw’atugamba ku one music centre
Ne tumubuuza mwebuuza kw’ani nga mubireeta?
Ffe ba stakeholder
Ffe ba shareholder
Ffe abamanyi bye twetaaga ogrowinga stronger
Okukaayana ne kutandika waya zivuddeko
Ragga Dee bamusomedde bwe yewozaako
General atugambye mbu yasasula E-Concert
Tuyimbire ku ttivvi batusasule tuwone poverty
Ne tumugamba bboyi ggwe b’oziwa batubba
Kko ye sitya loss nze mwana ne bwe banziba!
Luno lwe lugendo lwange (Gulu)
Kano ke kaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange (Gulu)
Luno lwe lugendo lwange (Gulu)
Kano ke kaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange
Yes, kutambula kulaba okudda kunyumya
Waliyo ne part two aky’ayagala ommanya (ho)
Yenze Feffe Bussi wo
Bw’oyagala nkuweerawo