Feffe Bussi - Omumanyi lyrics

[Feffe Bussi - Omumanyi lyrics]

FBM no nonsense
Wamma yonna gyoli (yes)
Oba ozifunye zimenke
Run show master
Eddie Dee bawe bbomu ha!

Brian White omumanyi? (oyo yagwa)
Milton Obote omumanyi? (oyo yafa)
Bad Bobi Wine omumanyi? (oyo muka)
Muka, muka, nkugambye muka
Mike Ezra omumanyi? (oyo yagwa)
Iddi Amin Dada omumanyi? (oyo yafa)
Kabaka Mutebi omumanyi? (oyo muka)
Muka, wangaala Ssaabasajja

Katumba oyee mumulabako? (oyo yagwa)
Jenipher Musisi mumulabako (oyo yatya)
Kaguta Muzeeyi mumulabako? (oyo muleke, muleke)
Anyiiga mangu oyo muleke
Omwami wa Zuena omumanyi? (oyo muleke)
Ashburg Katto omumanyi? (oyo yagwa)


Katsha De Bank omumanyi? (oyo muka)
Ne Feffe Bussi wo omumanyi? (abo baka)

Ex wange mumulabako? (oyo yagwa)
PAM Award yo ogimanyi? (eyo yafa)
Man U yo ogimanyi? (eyo nka)
Nka, ebakuba ttiimu nka
Gravity Omutujju omumanyi? (oyo muleke)
Akaaba mangu oyo muleke
Uganda Railway ogimanyi? (eyo yafa)
Yafa kibi nnyo yafa

Teeka ku Airtel MTN emmanja togwa
It will end in tears eyabyogera yatya
Send me T.P baŋŋambye mbunno muleke
Muleke ne bwaba tazze muleke
Yo, David mugambe mbunno luno lutalo
Lwa nsimbi olwa Ronald lwa mayinja
Nga Jose nze nsaze mayanja
Ssente nze agaba toyita Nabbanja

Mukama waali nze seetaaga kusaasira
Nga Solomon Kampala nze mpita Kampala
Seetaaga ampabula ng’oli Tindihaburwa
Mulimu amavunya mwetaaga ggolola
Bebe tali cool ne Betty ssi mpologoma
Mbeera mbi nno ne Willy emukaabya
Nga Sheebah abawala bampita kalungi
Ne bw’olaba ntagala ntamiira lwa bu dear
Nga Spice nasooka na mu choir
Full Figure ku Uganda alinako ekibajjo
Atwala ebyanga nga Eddy mmusuuza
Ekyambuka yagamba Jeff kiwanuka
Radio mpuliriza emu Radio Mowzey
Bw’owulira Feffe ffe ababa bakikoze

Katumba oyee mumulabako? (oyo yagwa)
Jenipher Musisi mumulabako (oyo yatya)
Kaguta Muzeeyi mumulabako? (oyo muleke, muleke)
Anyiiga mangu oyo muleke
Bad Bobi Wine omumanyi? (oyo muka)
Muka, muka, nkugambye muka
FBM no nonsense

Interpretation for


Add Interpretation

A B C D E F G H I J K L M N O P Q R S T U V W X Y Z #
Interpret