Barnely UG - Mbaakyi lyrics
[Barnely UG - Mbaakyi lyrics]
Hmmm
Ah dis one better than the other one
A Barnely Uganda hmmm
Hmmm hmmm
Eno ecuuma nnyo, nnyo (yes man)
Eddie Dee
Kambuuze, erinnya lyange linnyamba ki?
Nga sisobola kweyita!
Ye bwe ndya nenzikuta mba ntawaanidde ki?
Nga ne ku makya bukya ennuma!
Bwe nkwacca ebikoola bya ovacado mba ki?
Ezigagula bwe zimbula
Ye bwe ngwa mu love n’omukozi onkola ki?
Nga y’anjalira we nsula
Bagamba mbu omwavu y’asinga oba n’amagezi
Naye bwe gasukka luba lugezigezi
Leero ku makya mbu omulogo y’akuloga
Kyokka bw’onoonya owona era gy’ogenda
Kitegeeza eno ensi ekumegga n’ekuluma
Anti ne gw’otya omuvumira mu matama
Kuba n’emmotoka ekukuba n’ekutta
Kyokka ku makya n’omulambo n’egukima
Nze sikweka ng’enkola y’Abakiga
Akugambirawo bw’omukubira omukka
Edda ng’empale yo kasita eyulika
Tosala ku bbala naye kati ly’esswaga!
Nasanze seeka n’owa booda
Nga bayomba ng’amugudde ne mu malaka
Ng’ontuuza otya ku mutto gwa booda
Kw’osiba Ssuuna Ben enva z’akutuma?
Kko nze what are you?
Nasirise butaswala
Kuba gwe ky’oyagala ate eriyo abatakyagala
Gwe weewola mukazi wo omukuba embaga
Kyokka ng’abaana azaalira neighbour
Kambuuze, erinnya lyange linnyamba ki?
Nga sisobola kweyita!
Ye bwe ndya nenzikuta mba ntawaanidde ki?
Nga ne ku makya bukya ennuma!
Bwe nkwacca ebikoola bya ovacado mba ki?
Ezigagula bwe zimbula
Ye bwe ngwa mu love n’omukozi onkola ki?
Nga y’anjalira we nsula
Nze ndi mulwanyi nsobola okukuba Golola
Singa nfuna abamunsibira emiguwa
Pastor nkeera kulokoka bw’ombuusa
Mu bisolo byonna ekikumpisa ekiriga!
Bw’oba onoonya atagenda kucheatinga
Kwana namwandu owone okufoolinga
Toba na kutya mbu ate bba we bw’ansanga
Ng’okimanyi bba ali wansi wa mutuba
Singa okutta ebisolo batusiba gwa murder
Teri mukazi yandiwonye gwa nkoko murder
Singa ky’osinga okulya enkya ky’ofuuka
Nkakasa singa Amooti baamukwacca
Bw’oba n’ekikuluma ekiro obudde tebukya
Kyokka bwanguwa nnyo ng’olina bye bakuleega!
Simanyi abalalu e Kampala muli ba mbega?
Nga sitera kulaba mulalu gwe batomedde!
Kambuuze, erinnya lyange linnyamba ki?
Nga sisobola kweyita!
Ye bwe ndya nenzikuta mba ntawaanidde ki?
Nga ne ku makya bukya ennuma!
Bwe nkwacca ebikoola bya ovacado mba ki?
Ezigagula bwe zimbula
Ye bwe ngwa mu love n’omukozi onkola ki?
Nga y’anjalira we nsula
Anti waliwo oluusi lwe ntunula ku ggulu
Nenneebuuza ebibuuzo ate nembyeddamu
Oba omutonzi omutwe agusuza Naguru
Nga ffe abali obubi y’ewali amagulu (eh!)
Bwe ntaamira mba nkoze kiki-ennyo?
Omanyi mwefuula ba I know-more
Siraba njawulo wakati wa O na zero
Kuba bw’omala okugatta enjawulo eba zero
Muvulugavuluga ng’oguze essimu ey’ekyenda
Nze ku Mutaasa bansaba kkumi ate nemmuwa mwenda
Ndaba mujeregajerega mbu omuko yala ayera luggya, eh
Amujad, ah ku buko mba sijja
Anti omwavu, ye taba na pressure
Avuga bigere kuba byo tebinywa mafuta
Anti nebwatamiira enju n’ataggala
Taba mu kutya mbu oba ekiro banaamubba
Kambuuze, erinnya lyange linnyamba ki?
Nga sisobola kweyita!
Ye bwe ndya nenzikuta mba ntawaanidde ki?
Nga ne ku makya bukya ennuma!
Bwe nkwacca ebikoola bya ovacado mba ki?
Ezigagula bwe zimbula
Ye bwe ngwa mu love n’omukozi onkola ki?
Nga y’anjalira we nsula
Yo
Ah mi name Barnely Uganda one two
A true dancehall King straightta haha
Don’t try this at home
A Eddie Dee Producer
Acton Records
Rrrrrrrr, chooo!