David Lutalo - Babongoote lyrics

[David Lutalo - Babongoote lyrics]

Hmmm
Babongoote
David Lutalo
Yaled

Eno ssaala y’abo bonna abanteeka abanjagaliza ebibi
Bambi taata eyatonda eggulu n’ensi nkusabye bawe ebirungi
Ebibaleetera okutigomya abalala obibawenga mu bungi
Osanga banaggwamu omutima ogwo ogubafuukuula mu langi
Nkisabye lwa bulungi
Yadde nga munda nina obulumi
Omutima bagujjuzza ebituli
Naye gwe basasule bulungi
Kuba bye nina tebibakkusa
Bandidde nsigazza kuta, aah
Amannyo nebwegabawanguka
Amagumba be bagalwanira, oooh
Ebibuno nebwebibanuubuka
W’akutte asigala aluma, oh oh

Abalabe bange bakkuse (bakkute)


Mukama (babongoote)
Eh, nze neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)
Buli lunaku obawe emmere (bakkute)
Katonda wange (babongoote)
Eh, neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)

Okwagala ngatte omusaayi gwange
Ogwo gwe musango gwange
Buli atemye omugongo gwange
Katonda mukuteeredde
Bammekese obugumba bwonna
Nafuuse kabuzi kaabwe
Bataayizza mu nsonda zonna
Bakoonye ekyenyi kyange
Ekinnyiga nti bantegeeza
Mbu ndi muganda waabwe
Nga baagala kubaaga ddiba lyange
Baliise lumonde waabwe
Banfudde mukalo gwa ngege
N’obugumba basonjole eh
Ninga miwuula gya ffene
Bansokodde bawoomerwe eh
Mungu bano bwotaabawe
Bamekese enjala zange mu bigere eh
Bawe emmere babwegere
Balye n’ebigere basindise eh

Abalabe bange bakkuse (bakkute)
Mukama (babongoote)
Eh, nze neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)
Buli lunaku obawe emmere (bakkute)
Katonda wange (babongoote)
Eh, neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)

Nja nembuuza taata lwaki?
Katonda ssaabalwanyi
Gwe njagala mponye ebisaanyi
Ate y’anjiwa omusaayi
Ow’omukwano mu bitonde y’ani
Ddala omululu gwaki?
Awava olukaalikaali
Wano eno ensobi eri kw’ani
Ssebo Mukama Katonda wange, eeh
Bawe emiceere bakkute, ooh
Nze nsaba magezi bwongo
Bo bateere mu mabbakuli akalo
Buli kya kulya ekibawe leero
Omukkuto gubaleete otulo
Babenga mu kulya bulijjo
Njala y’ebefunguza ku buko
Bazinga n’enkata ekiro
Bajja kumira obwana obuto

Abalabe bange bakkuse (bakkute)
Mukama (babongoote)
Eh, nze neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)
Buli lunaku obawe emmere (bakkute)
Katonda wange (babongoote)
Eh, neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)

Abalabe bange bakkuse (bakkute)
Mukama (babongoote)
Eh, nze neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)
Buli lunaku obawe emmere (bakkute)
Katonda wange (babongoote)
Eh, neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)

Interpretation for


Add Interpretation

A B C D E F G H I J K L M N O P Q R S T U V W X Y Z #
Interpret