David Lutalo - Onyonyogera lyrics

[David Lutalo - Onyonyogera lyrics]

Wamponya emikwano nga gyansumbuwa
Nafunye gwe omutuufu sikyabiddamu
Bwe kuba kuyomba mugamba anvuma
Bankanuzanga amaaso, bantulugunya
Nga mbeera awo
Omutima guluma, kuba nali njagala
Naye nga ye anzalawa
Nga kale bavuma
Laba bw’addanga ettumbi, nenzigulira
N’asula wabweru, nennyaniriza
Nemmala ebbanga maama nga sikakombako
Akamere akalungi nga tanfumbira
Nembeera awo ntyo bwentyo
Kati ndi Kibuuka nabuuse
Mumpite mirembe ngirimu ndaba
Nafunye omwana maama (atannalabika)
Alinga eggiraasi (etannayatika)
Ayaka ng’ekisenge (enjuba mw’esula)
Baamubumba mu bbumba limu ye ne malayika
Nina akalabo nkaleese
Leeta olugalo nziseeko



Kati mpulira onnyonyoogera mu mutima
(Entunula embi wagimmazeeko)
Bwe nkulaba nnyumirwa neesunga
(Entunula embi wagimmazeeko)
Mpulira onnyonyoogera mu mutima
(Entunula embi wagimmazeeko)
Bwe nkulaba nnyumirwa neesunga
(Entunula embi wagimmazeeko)

Nze muntu omutuufu akusaana baby
Omulungi mu love ataakuleete nnyiike
Abanjogerera nti ndi muyaaye
Bantunzeeko byoya bya nkoko bandiise emmondo
Honey nkulayirira mu bye nkola
Nsinze mumiro bwe mbeera muyaaye
Kale mukwano
Semberako wano
Kwatirira wano
Omutima guluma
Omyansa nga laddu ekubye mu nzikiza
Oba nga kibunoomu ayise mu ttumbi
Nja kulwana nga bw’olaba enjuba n’omwezi
Bwe birwanira obukulembeze mu bbanga
Kale mukwano
Semberako wano
Kwatirira wano
Omutima guluma
Bano balimba
Bali mu katemba
Batuleke tebatulumira mba

Kati mpulira onnyonyoogera mu mutima
(Entunula embi wagimmazeeko)
Bwe nkulaba nnyumirwa neesunga
(Entunula embi wagimmazeeko)
Mpulira onnyonyoogera mu mutima
(Entunula embi wagimmazeeko)
Bwe nkulaba nnyumirwa neesunga
(Entunula embi wagimmazeeko)

Sirina waasiwaasi mu mutima
Mpummudde ng’ensonzi mu ttosi nga ggwanvu
Nina emirembe naawe ondaba
Ndigita ng’engege ewuga mu mazzi amangi
Guno omukwano gwampoomera
Hmmm binyumye mu guno omwaka
Kale ebigambo tubyewale
Tusirike, bajegere
Tujja kusassika bo baseke
Bwetugendera ku bigambo byabwe
Sweetie ma darling
Eno siteeringi
Nze nvuga towunzika ebigere mu beeringi
Sweetie ma darling
Bano bakuusa tubeekuumire tetubawanga ekyanya

Kati mpulira onnyonyoogera mu mutima
(Entunula embi wagimmazeeko)
Bwe nkulaba nnyumirwa neesunga
(Entunula embi wagimmazeeko)
Mpulira onnyonyoogera mu mutima
(Entunula embi wagimmazeeko)
Bwe nkulaba nnyumirwa neesunga
(Entunula embi wagimmazeeko)

Kale nkufeelinga (nkufeelinga)
Nebwembeera naawe nkumissinga, oh
Mpulira ŋŋenderera (ŋŋenderera)
Buli kendya maama nkaayirirwa
Kale nkufeelinga (nkufeelinga)
Nebwembeera naawe nkumissinga, oh
Mpulira ŋŋenderera (ŋŋenderera)
Buli kendya maama nkaayirirwa (aaaaah…)
Kale nkufeelinga
Nebwembeera naawe nkumissinga (nkumissinga aah)
Mpulira ŋŋenderera (ŋŋenderera)
Buli kendya maama nkaayirirwa (kankaayirira, nkaayirirwa)

Kati mpulira onnyonyoogera mu mutima
(Entunula embi wagimmazeeko)
Bwe nkulaba nnyumirwa neesunga
(Entunula embi wagimmazeeko)
Mpulira onnyonyoogera mu mutima
(Entunula embi wagimmazeeko)
Bwe nkulaba nnyumirwa neesunga
(Entunula embi wagimmazeeko)

Interpretation for


Add Interpretation

A B C D E F G H I J K L M N O P Q R S T U V W X Y Z #
Interpret