Ruth Kuganja - Bikyuse lyrics

[Ruth Kuganja - Bikyuse lyrics]

Brian Beats
Shonga Music

Sweet naloose ekiro ng’oli wange gye nsula
Ng’oli ku luggi okonkona nenkugamba yingira
Nga nanyumiddwa okufa ssanyu kumpi kunzita
Bannange twambuze otulo nga ndi ku gwe nendoba
Obikola otya naye?
Mazima nembulwa otulo!
Ye ki tokikolako?
N’ojjayo netulaba
Awo olwegguloggulo
Ŋŋamba ebiyita ekiro

Bikyuse
Ebirooto bikyuse
Bikyuseemu bibeere bya ddala ddala
Ddala ddala
Bikyuse
Ebirooto bikyuse
Bikyuseemu bibeere bya ddala ddala


Ddala ddala

Kyendowooza ate
Kyagala n’oŋŋambako
Nemmanya nti ojja
Bannange nembitegeka
Na ka music koona
Obuyimba nembusengeka
N’omanya nti bw’otuuka yeggwe kimuli ky’ewaka
Ebi red carpet
Mbuulira mbitegeke
Eno love bucket
Olwo ogipakire ejjule
Y’ani anaatuwulira?
Amapenzi gatutabula

Bikyuse
Ebirooto bikyuse
Bikyuseemu bibeere bya ddala ddala
Ddala ddala
Bikyuse
Ebirooto bikyuse
Bikyuseemu bibeere bya ddala ddala
Ddala ddala

Ombalirabalirako
Lwaki tonneesiga?
Nebwebanjogerako
Njagala nenkwefuga
Njagala obeere ku board
Ku near baby nga yenze nvuga
Balala baagala ssente
Naye ate nze bye nsuza ewaka
Eno love bucket
Olwo ogipakire ejjule

Bikyuse
Ebirooto bikyuse
Herbert Skillz pon dis one
Bikyuseemu bibeere bya ddala ddala
Ddala ddala
Bikyuse
Ebirooto bikyuse
Bikyuseemu bibeere bya ddala ddala
Ddala ddala

Interpretation for


Add Interpretation

A B C D E F G H I J K L M N O P Q R S T U V W X Y Z #
Interpret