Sylver Kyagulanyi - Olunaku Luno lyrics

[Sylver Kyagulanyi - Olunaku Luno lyrics]

Oyo gwe njogerako Mukama
Ebyange byonna abimanyi
Abalungi n’ababi abalaba
N’abalabe bange nabo abalaba
Y’eyatonda byonna y’abifuga
Kabube obulamu, y’abupima
Y’alukeesezza ne luno
Kuba asiimye mbeere omulamu
Ooh Mukama
Onkuumye nnyo Mukama
Na luno olukedde olunaku
Lube nga lwa ddembe lamula

Olunaku luno ooh
Ndutadde mu mikono gyo mukama
Nsaba oluŋŋamye amakubo
Mukama leero onkulembere
Sumulula omukisa gube nange
Ne bemmanja bansasule
Nange nsaba ompe amagezi
Sulemaani ge wamuwa



Buli kye nkwatako Mukama
Mpa omukisa nkiganyulwe
Ebiseera bye mmala nga nkola
Nnyamba nsobole okufuna
Emitego gya sitaani enkumu
Gyonna gimbuuse
Obukuumi mu bulamu bwange
Ne ku bintu byange Mukama bumpe
Obukuumi ku maka gange
Ne ku bazadde bange bumpe
Obukuumi ku mikwano gyange
N’emirimu gyange Mukama bumpe

Olunaku luno ooh
Ndutadde mu mikono gyo mukama
Nsaba oluŋŋamye amakubo
Mukama leero onkulembere
Sumulula omukisa gube nange
Ne bemmanja bansasule
Nange nsaba ompe amagezi
Sulemaani ge wamuwa

Nsazaamu ebirooto bye ndoota
Bwe biba ebikyaamu
Emizimu gy’abo abaafa
Era nagyo ngisazaamu
Nsazaamu ebikolimo n’eddogo
Nsazaamu ebisulo
Nnyambala omusaayi gwa Yesu
Kuba lwazi

Olunaku luno ooh
Ndutadde mu mikono gyo mukama
Nsaba oluŋŋamye amakubo
Mukama leero onkulembere
Sumulula omukisa gube nange
Ne bemmanja bansasule
Nange nsaba ompe amagezi
Sulemaani ge wamuwa

Interpretation for


Add Interpretation

A B C D E F G H I J K L M N O P Q R S T U V W X Y Z #
Interpret