Vinka - Bigambo lyrics

Vinka [Nakiyingi Veronica Lugya]

[Vinka - Bigambo lyrics]

Hmmm
Vinka
Hmmm
Swangz Avenue
Eno Beats

Baby yeggwe gwe njagala bambi
Saagala ebigambo bikuyinule eyo
Dear yeggwe gwe nasiima nze
Saagala ebigambo bikuwugule eyo
Boogera bo boogera ne bw’oba ani
Bageya bo bageya ne bw’oba ani
Ate nga yeggwe gwe nasiima nze
Saagala ebigambo bikuwugule eyo
Ah bikuwugule eyo
Ah bikuwugule eyo

Njagala bakimanye
Nti omukwano gwange nagusaza mu kabu
Nkwagala, dear nkwagala
Era wansuula n’eddalu, eh


Beebo abakwogerako mbu osera (osera)
Beebo b’obeerangamu ng’oseka (ng’oseka)
Tubalaga tulinganga abaakatandika
Aah ah, hmmm hmmm
Tonsuubira ate okukuba omugongo (no)
Ne bw’oliba ng’ozizza omusango (no)
Tonsuubira ate okukuba omugongo (no)
Ne bw’oliba ng’ozizza omusango

Nze eby’omukwano nabimala
Kasita nafuna gwe ne mmala
Baba bamala biseera okwogera
Kuliba kufa kwekulitwawula dear
Nze eby’omukwano nabimala
Kasita nafuna gwe ne mmala
Baba bamala biseera okwogera
Kuliba kufa kwekulitwawula dear
Onnemerako yadde sirina (sirina)
Tugabane ekyo nze kye nina (kye nina)
Tolimpa ka time ne nkoonoona
Tolimpa nze time ne ŋaana

Interpretation for


Add Interpretation

A B C D E F G H I J K L M N O P Q R S T U V W X Y Z #
Interpret